Connect with us

News

Pulezidenti Museveni Anenyeza Abalamuzi Okugaana Kkooti Y’amagye Okuwozesa Abatali Bajaasi , Aleeta Enkyukakyuka

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Pulezidenti Museveni agambye ebyasaliddwawo kkooti ensukulumu nti kkooti y’amagye tekkirizibwa kuwozesa batali Bajaasi bikyamu nti atali mujaasi akozesa emmundu gyalina okuwoleza.

Agambye nti kkooti eno bagireeta kuyamba kulwanyisa abatali bannamagye kyokka abakozesa emmundu okujojobya bannansi nti era zikoze kinene okutebenkeza eggwanga kubanga zikuuma abajaasi ne bannansi kyenkanyi.

Agambye nti ekituufu kkooti z’amagye tayinza kukkiriza zigyibweko obuyinza Okuwozesa abakozesa emmundu wadde nga sibamagye n’agamba nti bagenda kuleeta enongosereza mu mateeka kkooti zisigalewo wabula mu nkola entuufu.

Pulezidenti agambye nti ensala ya kkooti yalaze nti ddala kkooti z’amagye zamugaso lwakuba zibaddemu emiwatwa n’agamba nti bagenda kuterezaamu kkooti zisigalewo.

Yawadde ekyokulabirako nti kkooti z’amagye ziyambye nyo okulwanyisa abakozesa emmundu naddala mu bitundu by’e Karamoja n’agamba nti Uganda okubeeramu emirembe n’obutebenkevu ye kyakulembeza .