Bya Musasi Waffe
Mogadishu
Pulezidenti wa Amerika,Donald Trump atandise omuyiggo ku Bannalukalala mu mawanga ga Africa bwasindise Enyonyi enwanyi ne zisuula bbomu ku nfo ezibaddemu abalwanyi ba Islamic State .
Mu bulumbaganyi buno obwabaddewo ku Lwomukaaga, waliwo bakamanda b’akabinja ka Islamic State n”abalwanyi abatiddwa.
Kyokka ekikwekweto kino kyakoleddwa nga be gavumenti ya Somalia temanyi kyokka oluvanyuma lw’okukimaliriza Amerika yategeezezza ku bafuga e Somalia.
Oluvanyuma Trump yategeezezza ng’asinziira ku mukutu gwe ogwa sosomidiya nti bakugenda mu maaso okuyigga n’okutta abalabe ba Amerika wonna webali.
” Abatujju baabadde beekukumye mu mpuku zaabwe kyokka tubatiddeyo ate eyo ntandikwa” Trump bwe yagambye.
Yalabudde aba ISIS, IS, Al Qaeda, Al Shabbab n”obubinja obulala bwe yagambye nti butegeka okukuba Amerika n’okutabangula emirembe yonna gye buli nti okusaaga kukomye ku Pulezidenti Joe Biden eyawummudde obwa Pulezidenti.
Minisita w’ebyokwerinda Pete Hegseth yategeezezza ekitongole ky’amawulire ekya BBC nti Amerika egenda kufufugazza obubunja buno wonna webusangibwa.
Obulumbaganyi buno bwakoleddwa mu nsozi z’obukiika kino bwa Somalia ez’e Golis ng’oyolekedde ekitundu kye Puntaland.
Pulezidenti wa Somalia, Hassan Sheikh Mohamud ne munne owa Puntaland bayaniriza ebikwekweto bya Amerika bino.
Akabinja ka Islamic State ne bunewaako obulina amakanda mu Iraq ne Syria busensedde Africa nebukola n’emikago ne Bannalukalala ab’enjawulo.