Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Abakungu b’ekisinde Kya PLU ekikulemberwa Gen Muhoozi Kainerugaba bakunze abantu Okujumbira Emisinde gy’okujaguza amazaalibwage ag’omulundi ogwa 51.
Emisinde gino gyakubaawo enkya ku Ssande nga 13/4/2025 nga abakudduka baakusimbula ku kisaawe e Kololo.
Abateesiteesi okwabadde abamyuka ba PLU mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo okwabadde Frank Gashumba ( Buganda), Jonh Bob Kakuru ( Kampala),Cedric Ndirima Babu (Kampala Extra) n’abalala okuva mu kisinde kino bagambye nti omulamwa omukulu kulwanirira butonde bwansi.
Gashumba yagambye nti obutonde bw’ensi tebwawula ndowooza zabyabufuzi wabula bukoseza wamu nasaba abantu Okujumbira n’okusimba emitti.

Abakungu ba PLU ababade kumukolo
Omukolo gwakubaako okusimba emiti. Ababeera mu Kampala n”emiriraano bakugenda e Kololo ate abali ewala n’ebweru w’eggwanga bakuddukira eyo.
Abalala mu PLU ababaddewo kuliko Amina Mutesi Nalubega( Bugweri),Agaba Albert (KCCA), Rashid Ssekindi ( Akulira aba takisi) n’abalala okuva e Bunyoro, Tooro, Ankole n’ewalala.