Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Amawulire amapya agayanjuddwa patulooni w’olukiiko olufuzi olw’Abandimwe, Frank Gashumba gacamudde Abavandimwe kubanga Abanyarwanda Bannasangwa babadde basosolwa n’ okunyigirizibwa ebikole ekya NIRA ekigaba endagamuntu ne kinaakyo ekigaba Paasipoota.
PATULOONI w’ekibiina ekigatta Abanyarwanda Bannasangwa eky”Abavandimwe akubizza bannakibiina n’Abanyarwanda bonna Bannasangwa engalo ez’oluleekeleeke bwayabawadde amawulire amapya amalungi nga Pulezidenti Museveni bweyakkiriza okukomya byonna ebibadde bibatulugunya nga bagenze okufuna Paasipoota N’endagamuntu.
Bino byabadde mu lukiiko olw’enjawulo olw’etabyemu enkumi n’enkumi z”Abanyarwanda Bannasangwa ku Speke hotel mu Kampala ku Lwomukaaga.
Abamu ku Banyarwanda abetabye mulukungaana ku Speke Hotel
Yagambye nti oluvanyuma lw’ensisinkano ezowerako ne Pulezidenti Museveni, yakkiriza okuyisa ekilragiro ekyenjawulo mwagenda okulambikira ekitongole kya NIRA ne minisitule y’ensonga ez’omunda ku nkola empya Abanyarwanda Bannasangwa gyebagendanga okufunamu Paasipoota N’endagamuntu.
” Pulezidenti yawulidde obulumi bwemubadde muyitamu nakkiriza okulangirira ekilragiro ekyenjawulo essaawa yonna okumalawo okunyigirizibwa okubaddewo” bwatyo Gashumba bwe yalangiridde wakati mu kukubirwa engalo n’Abanyarwanda okuwera nti ” Museveni bwatukolako naffe tugenda kumuwagira okusingawo”.
Gashumba eyasoose okubategeeza olutabaalo luno gyaluyisizza yabasabye nabo bawagire Museveni kubanga akkiriza okubawonya okunyigirizibwa.
Frank Gashumba nga ayogela Eli Abanyarwanda Bana’Uganda
EBIBADDE BIRUMA ABAVANDIMWE
Gashumba n’Abanyarwanda abalala baategeezezza nti wadde ssemateeka wa 1995 ayobera ku Banyarwanda abasangibwa kuno mu 1926 n’okweyongerayo nga bannansi ate NIRA ne ofiisi ya Paasipoota zibadde zibaboola nga zibama Paasipoota N’endagamuntu era n’abamu abazifuna edda zibadde zogaanibwa okuzibwa obugya ate endagamuntu ne ziboyebwa ku nsalo ekintu ekimenya amateeka.
Abalala babadde babatuma abazadde, bajjajja baabwe, okubapima amakudde oba okubatuma ebiggya byabajjabwe oba ebiwandiiko era bangi batotodde ennaku eyungula amaziga gyebayitamu.
Kyokka Gashumba yategeezezza nti kasita ekilragiro ekyenjawulo kinalangirirwa Pulezidenti bino byonna bisuubirwa okuggwa nti mu nsisinkano bakkiroziganyiza nti Abavandimwe oba Abanyarwanda Bannasangwa tebalina kuyisibwa nga abatali bannansi nti gavumenti egenda kukozesa ekitongole kya ISO, ebbaluwa okuva ku byalo gye bawangalira, ebbuwa zabataka abesugika okukasa nti ddala Bannasangwa olwo bawebwe Paasipoota oba endagamuntu.
Pulezidenti yagambye nti enkola Eno egenda kuyamba Abanyarwanda abatali Bannasangwa okukozesa omuwatwa guno okufuna Paasipoota N’endagamuntu nti bano bbo balina enkola mu mateeka gye basobola okuyitamu okufuuka Bannayuganda ng’abagwira abalala bwe bakola.
Gashumba yagambye nti okutuuka ewa Museveni ye n’akakiiko ke basooka kutuuka mu ofiisi zonna ekikwatibwako omuli eya Sipiika, palamenti, Kaliisoliiso, minisitule y’ensonga ez’omunda, ekitongole ekirwanirira obwenkanya n’ewalala.
Omukulembeze wegwanga Yoweri Museveni ne Frank Gashumba mu nsisinkano
Yagambye nti kati webatuuse siwabi kubanga ensonga zaatuuse ne mu lukiiko lwabaminisita ne palamenti n’agamba nti weewaawo.
Mu lukiiko lino olw’etabiddwamu n’ebibiina by’Abanyarwanda ebirala ebimanyiddwanga “Omubaano’ kyasaliddwawo enjawukana zidde ebbali basooke balwanirire obwenkanya.
Aboogezi abenjawulo omwabadde n’omumyuka wa Victoria university, Dr Lawrence Muganga Ono yalaze obukulu bw’obumu n’okulwanirira ebiseera by’Abanyarwanda Bannasangwa ebyomumaaso.
Yagambye nti tebanoonya ssente oba mirimu wabula okwerwanako bafune obwenkanya n’abaana n’abazukulu.
N”aboogezi abalala balemedde nyo ku kwegatta, okukolera awamu basobole okugusa ensonga ezibanyiga.